Omusomo gwabatandika ogulambulula enjawulo wakati w’ebiwandiiko ebikyuukakyuuka ne emiko ejitakyuuka olwo abakozesa abapya bamanye ddi lwebayinza okukozesa buli kimu
Ebiva mu Kuyiga
- Enjawulo wakati w’emiko ejitakyuuka n’ebiwandiiko ebikyuuka kyuuka
- Okusalawo ddi lw’okozesa ekiwandiiko ne ddi lw’olina okukozesa omuko ku mukutu gwo
Ebibuuzo eby’okutegeera
- Ebiwandiiko n’emiko byawukana mu ngeri ki?
- Lwaki ebiwandiiko bitwalibwa nga ‘Bikyuuka kyuuka’?
- Lwaki omuko gutwalibwa nga ‘tegukyuka’?
Mu Bigambo
Mbaaniriza ku Learn WordPress: Ebiwandiiko vs Emiko: Njawulo ki eriwo? Omusomo guno ogw’amangu we gunaggweerako, ojja kusobola okwawula wakati w’emiko ezitakyukakyuka n’ebiwandiiko ebikyukakyuka, n’osalawo ddi lw’okozesa ebiwandiiko ne ddi lw’olina okukozesa emiko ku mukutu gwo. Ka tutandike. Bw’otandika okukozesa WordPress, enjawulo wakati w’ebiwandiiko n’emiko eyinza okulabika ng’entono. Bw’onyiga mu editor, ebiwandiiko n’emiko mu Block Editor kumpi bifaanagana. Okuva mu maaso g’omukutu, nazo zifaanagana. Nga bwekiba, zirina langi z’emitwe n’omusono gwe gumu olw’emiramwa gya WordPress egiyamba buli kiwandiiko oba omuko ku mukutu gwo okutambulira awamu mu kulaba. Ebiwandiiko n’emiko byombi bisobola okuyungibwa ku menu ne’njawulo ntono nnyo, okuggyako endagiriro y’omukutu yennyini. Nga bw’ogeraageranya ebibiri bino, oyinza okwebuuza, lwaki ebiwandiiko bibaamu olunaku olugattibwa ku URL yaabyo?
Ate era, lwaki URL y’olupapula gwe mutwe gw’olupapula? Olw’okuba ebintu bingi ebifaanagana, lwaki kikulu ki ky’okozesa? Wewaawo, bw’ogezesa n’otandika okutunuulira enjawulo za buli emu ku zino mu Block Editor, ojja kukizuula nti mu butuufu waliwo eby’okulonda bingi eby’enjawulo. Lwaaki? Ebiwandiiko n’emiko bikola ebintu eby’enjawulo. Kati bw’okozesa emiko, zino zibeera za lubeerera mu ngeri nti tezikyuka. Okwawukanako n’ebiwandiiko ebikyuuka, ebizza obuggya omukutu gwo buli lwokola ekipya, omuko gubeera mu kifo kimu, ekitegeeza nti bw’omala okugukola, omuko gusigala mu kifo kimu nga gulina amawulire ge gamu okutuusa lw’okyusa.URL y’omuko gwo nayo esinziira ku mutwe gw’olupapula lwo, so si nnaku za mwezi. Laba engeri gy’oyinza okufulumya ebitabo ku lupapula luno. Engeri jeetagenda kwefulumya nga ojitongozza, mu mbeera nnyingi, era ojja kwetaaga okukola endagiriro ku muko nga tegunnalabika ku mukutu gwo, oba mu lukalala lw’okutambulirako oba ku kiwandiiko oba ku lupapula lwennyini. Nga bwekiba, emiramwa egimu gijja kukugattirako emiko mu lukalala. Naye kino si bwe kibeera bulijjo. Kale kikulu okumanya singa oba okola omukutu omunene nga toyagala kulaga buli muko. Naye, bw’oba tokakasa lwaki omuko teguraga butereevu. Bw’okola omuko, gujja kusigala wonna w’oguteeka okutuusa lw’ogutambuza. Eyo y’engeri enkulu gye gwawukana ku kiwandiiko. Omuko tegukyuuka. Tegubaamu lunaku lwa mweezi, era tegukyuka oba okugenda mu maaso bw’okola emiko emirala, n’olwensonga eyo eba ya lubeerera. Wano waliwo eby’okulabirako ku nkozesa y’emiko: omuko gw’awaka, omuko gw’okukwatagana, omuko ogw’ekwata ku mukutu, oba omuko 404. Osobola okuwandiika ku mukutu n’ebiwandiiko. Olabye wa ebiwandiiko jebuvuddeko? Bw’oba wali osomyeko ku mukutu gw’emboozi, oba omukutu gw’amawulire ku yintaneeti, mazima ddala olabye ebiwandiiko nga bikozesebwa. Osobola okufulumya ekiwandiiko mbagirawo, okiterekera okufuluma edda oba no’kusiba ne’kigambo ekyeekyaama. Bw’oba oyagala ekitundu kyokka ku kiwandiiko kyo okulagibwa ku mikutu gya yintaneeti oba ku mukutu gwo omukulu ogw’emboozi, osobola okukozesa akabonero ka “more” nga bw’olongoosa ekiwandiiko kyo. Ebiwandiiko bisobola n’okulabika mu mitendera oba ku muko gwa lama. Obutafaananako miko, ebiwandiiko birimu embu ne nnamba, ebikusobozesa okugatta ebiwandiiko byo mu ngeri ez’enjawulo. Okugeza, ku mukutu gwe by’ebyentambula, oyinza okuba n’omutendera gwa ssemazinga ez’enjawulo. Ebiseera ebisinga kirungi okukozesa omutendera gumu oba oli awo bbiri buli kiwandiiko, kuba ebiseera ebisinga bigendereddwamu okwawula ebirowoozo. Mu kiseera kino, tags (lama) za birowoozo ebitonotono ebiwandiiko bye biyinza okufaanaganya, gamba ng’ebifo ebirimu ensozi, ebifo ebirimu emigga, oba ebifo ebirimu ebiwonvu. Bino byonna byakulabirako birungi ebya lama. Ebiseera ebisinga, ebiwandiiko ebipya ebifulumiziddwa birabikira waggulu ku muko ogutegekeddwa okulaga ebiwandiiko by’emboozi, oba ng’ekiwandiiko ekijjuvu, oba oluusi ng’omutwe gwokka n’ekitundu okusinziira ku mulamwa gwo. Buli lw’ofulumya ekiwandiiko ekipya, kirabika butereevu ku mukutu gw’emboozi ogwateekebwawo. Ebiwandiiko byo bijja kuba ne URL ey’enjawulo okusinziira ku lunaku kino lwe kyateekebwa. Kino kijja kuyamba okuzuula ekifo ekiwandiiko we kinaalabika ku muko. Osobola okugikyusa okulaga olunaku olw’emabega oba n’okuteekawo enteekateeka y’ekiwandiiko ekigenda okufulumizibwa ku lunaku olulala mu biseera eby’omu maaso. Geraageranya omutwe gw’ekiwandiiko kino ku mutwe gw’omuko. Olaba enjawulo eriwo? Kino kitegeeza nti bikyukakyuka, ekitegeeza nti bisobola okukozesebwa n’okulagibwa mu ngeri nnyingi ez’enjawulo z’osobola okuteekawo nga tonnatandika kuwandiika. Bw’oba owandiika ekiwandiiko ky’amawulire, ebirango bya bizinensi yo, oba ekipya ku mukutu gwo, ojja kwagala okukozesa ekiwandiiko so si muko. Awo okimaze eyo y’enjawulo wakati wa ebiwandiiko ebikyuuka kyuuka n’emiko ejitakyuuka.